Ezekiel 32

Okukungubagira Falaawo

1 aAwo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 b“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:

“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,
ng’ogusota wakati mu nnyanja,
ng’owaguza mu migga gyo,
era ng’otabangula amazzi,
n’osiikuula n’emigga.
3 c“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
era balikuvuba n’akatimba kange.
4 dNdikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale,
era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako,
n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya
ne zikkusibwa.
5 eNdisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi,
era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.
6 fNditotobaza ensi n’omusaayi gwo
okutuukira ddala ku nsozi,
era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.
7 gBwe ndikusaanyaawo,
ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
okubaako ekizikiza;
8Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo.
Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza;
era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.
9Ndyeraliikiriza emitima gy’amawanga amangi,
bwe ndikuzikiriza mu mawanga,
ne mu nsi z’otomanyangako.
10 hAmawanga mangi galijjula entiisa
era bakabaka baabwe balisasamala,
ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe.
Ku lunaku olw’okugwa kwo,
buli omu ku bo alikankana,
era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.
11 i“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ekitala kya kabaka w’e Babulooni
kirikutabaala.
12 jNditta enkuyanja y’abantu bo
n’ekitala eky’abasajja abalwanyi abazira,
abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna.
Balimalawo amalala ga Misiri,
n’enkuyanja y’abantu be bonna balizikirizibwa.
13 kNdizikiriza amagana ge gonna ag’ente
okuva awali amazzi amangi,
era tewaliba n’omu alirinnyayo okubatabangula
newaakubadde ente okulinnyirirayo.
14N’oluvannyuma nditeesa amazzi ge,
n’enzizi ze ne nzifuula ng’amafuta,
bw’ayogera Mukama Katonda.
15 lBwe ndizisa ensi ey’e Misiri,
ne ngiggyamu buli kantu akalimu,
ne nzita bonna ababeeramu,
balimanya nga nze Mukama.’
16 m“Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri n’enkuyanja y’abantu be bonna,” bw’ayogera Mukama Katonda.

17 nMu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 o“Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya. 19 pBabuuze nti, ‘Olowooza gw’osinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe n’abatali bakomole.’ 20 qBaligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be. 21 rOkuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’ 

22“Asuli ali eyo n’eggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo ag’abattibwa n’ekitala. 23 sAmalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala.

24 t“Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi. 25Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.

26 u“Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. 27Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu.

28“Naawe ggwe Falaawo, olimenyebwa era olifiira wamu n’abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.

29 v“Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya.

30 w“Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.

31 x“Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda. 32Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi ey’abalamu Falaawo n’enkuyanja y’abantu be baligalamira mu batali bakomole, n’abattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Copyright information for LugEEEE